Omwaka 2018 omugagga Brian Kirumira amanyikiddwa nga Bryan White agumazeeko akutte akati mu kuyamba bannayuganda ku nsonga ezenjawulo.

Bryan White yavaayo okuyamba abantu okutandikawo emirimu egyenjawulo era 2018 awadde abantu abenjawulo ssente okwetandikirawo emirimu mu ngeri ya kapito, okuwa abayizi School Fees, okuyamba amassomero n’ebikozesebwa, okusomesa abavubuka okwewala okunywa enjaga n’ebiragalaragala, ekimufudde omuntu owenjawulo mu ggwanga lino.

Bryan White
Bryan White

Nga tumalako omwaka 2018 n’okuyingira omuggya ogwa 2019, Bryan White olunnaku olw’eggulo ku Ssande yasobodde okuyamba abantu 8 ne kapito okwetandikirawo emirimu abasobodde okulaga engeri gye bayinza okukyusa embeera zabwe singa bafuna kapito era bawereddwa obukadde obusukka 30.