Omukyala Zari Hassan alina amagezi gawadde abantu engeri gye bayinza okweyagala n’okukyusa obulamu bwabwe mu mwaka 2019.
Zari agamba nti buli muntu yenna alina okwewala ebintu ebimuleetera ebirowoozo, okwagala omuntu ali okumpi, obutejjusa.
Mungeri y’emu agamba nti buli muntu yenna alina okukola ebintu ebimufuula omusanyufu, okuba n’ekigendererwa n’okwewala ebintu by’obutwa mu bulamu, “I hope u find peace and happiness. Don’t stress the small things. Love the people closest to you. Have no regrets. Do what makes u happy. Have goals. Be thankful. Smile more. Let go of anything that is toxic and most importantly make this the best year of your life”
Ebigambo ebyo, bangi ku bagoberezi ba Zari ku mitimbagano gya yintanenti omuli Instagram, bagamba nti yabadde alumbagana taata w’abaana Diamond Platnumz wadde bayawukana kyokka yabadde alina okumutegeza nti takyamwetaaga mu bulamu bwe.
Zari y’omu ku bakyala abalina bagoberezi abangi era abantu bangi nnyo bamwegomba kyokka mu kiseera kino talina musajja amanyiddwa.
Omwaka oguwedde ogwa 2018, yawebwa obwa Ambasadda w’ebyobulambuzi.