Omuyimbi Jackie Chandiru akomyewo nankuba mpya mu kisaawe ky’okuyimba era ekkiro ekikeseza olunaku lwa leero akyankalanyiza ‘Club Amnesia’ mu Kampala.

Jackie eyakuyimbira Gwoka, Omukwano, Gold Digger n’endala abadde mulwadde era abadde ku ddagala oluvanyuma lw’okukozesa ebiragalaragala ebyenjawulo omuli n’enjaga era abadde aludde okuyimba okutuusa ekkiro ekikeseza olunaku lwa leero, lw’azzeemu okukuba omuziki.

Mu Amnesia, abadigize babadde bangi nnyo era abamu ku basajja balobedde ku bithambi bya Jackie, ekitabudde waaya zabwe.

Jackie mu ngeri eyenjawulo, asobodde okuyimba ennyimba ezenjawulo, ekiwadde abadigize essannyu era ku siteegi abadde alinako abazinnyi ab’enjawulo abakoze ebyewunyisa ate nga bonna bagonda ebiwato.
Mu Kampala, Amnesia ye ‘Club’ yokka ereeta abayimbi ne bannakatemba buli Lwakuna, okukyamula abantu.