Kkooti enkulu mu Kampala yejjereza abantu 3 ku misango gy’obutemu abaali bakwattibwa ku kitta bakyala ekyali e Nansana n’ebitundu bye Ntebbe omwaka oguwedde ogwa 2018.

Abayimbuddwa kuliko Ivan Katongole omusuubuzi w’ebyennyanja ku kizinga kye Kasenyi mu town council y’e Katabi mu disitulikiti y’e Wakiso.

Abalala okuliko Andrew Kizito ne Hellen Nabaggala abaali bakwattibwa ku by’okutta omukyala Rose Nakimuli eyali omusibi w’enviiri ku kyalo Kitala mu bitundu bye Entebbe mu disitulikiti y’e Wakiso.

Hellen Nabaggala, Andrew Kizito ne Ivan Katongole
Hellen Nabaggala, Andrew Kizito ne Ivan Katongole

Wabula enkya ya leero, omulamuzi Wilson Kwesiga agambye nti abajjulizi bonna omusanvu (7) abaletebwa, balemeddwa okumatiza kkooti nti abakwate benyigira mu kutta Nakimuli.

Omulamuzi Kwesiga era agambye nti Poliisi yalemwa okunoonyereza obulungi ku by’okutta Nakimuli era abantu bonna abakwatibwa tebalina musango.

Nakimuli yattibwa, 24, July, 2017 era omulambo gwe gwazuulibwa nga wayise olunnaku mu lukusu lwa bitooke nga gusonsekeddwa ebiti mu bitundu by’ekyama.