Kyaddaki omugagga Brian Kirumira amanyikiddwa nga Bryan White awadde ezimu ku nsonga lwaki yayawukana ne Zari Hassan mu kutambuza emirimu gy’ekibiina kye ekya Bryan White Foundation.
Kinnajjukirwa nti omwaka oguwedde ogwa 2018, Zari yafuna omulimu mu Bryan White Foundation okuyambako okuyimusa eddoboozi ly’omwana omuwala n’okuweebwa ebyetagisa omuli Paadi, ebitabo, ensawo n’ebirala.
Zari yakolagana ne Bryan White akaseera katono ddala era abamu ku bannayuganda baali batandiise okusasaanya ebigambo nti baagalana.
Bangi ku bannayuganda babadde bebuuza lwaki Zari ne Bryan White tebakyakwatagana ku nsonga y’emirimu.
Bryan White agamba nti Zari awankawanka nnyo kuba yasuulawo emirimu gye mu Bryan White Foundation lwakuba yali ayitiddwa minisita omubeezi ow’ebyobulambuzi, Godfrey Kiwanda Ssuubi okuweebwa obwa Ambasadda w’ebyobulambuzi.
Mu kiseera kino Bryan White ali mu bitundu bye Busunju gye yasimba amakanda era agamba nti bangi ku bannayuganda tebasiima wadde baweereddwa ssente nga ne Zari y’omu ku bantu abatasiima.