Mu Africa, abangi ku basajja abegwanyiza omukyala Zari Hassan wadde akuliridde mu myaka.
Zari alina abaana mu basajja babiri (2) omuli omugenzi Ivan Ssemwanga n’omuyimbi Diamond Platnumz okuva mu ggwanga erya Tanzania.
Mu 2017, Zari ne Platnumz bafunamu obutakaanya ne bawuukana era mu kiseera kino tewali musajja amanyikiddwa afukirira Zari vuvuzera.
Platnumz yafuna dda omukyala Tanasha Donna Oketch okuva mu ggwanga erya Kenya era batekateeka mbaga.
Wabula Zari asobodde okweyambisa omutimbagano gwa Instagram okulaga omusajja omuzungu ng’amuwembejja.
Ku Instagram, Zari agambye nti tamanyi ngeri gy’ayinza kumwebazaamu, “I Can Never Thank Tou Tnough“.
Ku nsonga eyo, abamu ku mikwano gya Zari bagambye nti kirambika y’omu ku basajja abafunye omukisa okutabaala amatwale ga Zari n’okumwerabiza ebirowoozo bya Platnumz.
Zari alina emyaka 38 kyokka amanyikiddwa mu kuganza abasajja abato kuba mu kiseera kino alina abaana 5.