Sheebah Kalungi y’omu ku bakyala abategeera okulya obulamu kuba mukyala mukozi nnyo era asobodde okutuyana nnyo okusobola okuwangala nga y’omu ku bayimirizaawo ekisaawe ky’okuyimba.
Omwaka oguwedde yabadde ne Konsati era yafuna abantu bangi ddala.
Ebifaananyi ebyo, biraga nti Sheebah yabadde mu Dubai okuwumulamu era yasobodde okulambula ebifo ebyenjawu omuli nen Desert Safari.
Sheebah bwe yabadde agenze ku ‘Beach’ okulya obulamu, yasobodde okukikirira Uganda kuba yasobodde okulobesa abasajja abenjawulo omuli n’abazungu nga bewuunya omubiri gw’omwana.