Ekyalo Nkumba kisanyaladde, bannabyabufuzi ababadde bagambibwa nti tebakyalima kambugu bwebatudde awamu, ekiwadde abalonzi essannyu n’abakulembeze abenjawulo n’okusingira ddala okuva ku ludda oluvuganya Gavumenti.


Munna FDC Col. Dr. Kiiza Besigye wamu ne Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine akulembera ekisinde ekya People Power, babadde mu kuziika Omutaka John Luswata Mulumba taata wa Maama Nnaabagereka Sylvia Nagginda olunnaku olw’eggulo ku Lwokubiri.

Embeera eyo, eraga nti Dr Besigye ne Bobi Wine tebalina buzibu bwonna era mu kulonda kwa 2021, buli omu waddembe okwesimbawo, bannayuganda okulondako agwanidde okulembera eggwanga lino kuba ne ssentebbe w’ekibiina kya NRM Yoweri Kaguta Museveni naye akomawo.

Mungeri y’emu Besigye ne Bobi balabiddwako nga banyumya n’okuseka, ekiraga nti abawagizi b’ekisinde kya People Power balina okukomya okuvuma abakulembeze omuli Besigye wabula okutekawo embeera okumusikiriza okubegatako mu kulonda kwa 2021.