Kkampuni y’Ebyempuliziganya eya MTN nga yegatiddwako Ssemaduuka wa Shoprite batandise okukozesa enkola ya MTN Momo pay mu butongole n’ekigenderererwa eky’okukendeeza ku bubbi obubaddewo n’okukendeza ku budde obwononebwa nga bakasitooma basimba ennyiriri okusasuula ebintu bye babeera baguze.

Okusinzira kw’akola nga manejja wa MTN Christopher Ssali, enkola ya MTN Momo pay omuntu waddembe okusasula ebintu by’aba aguze ku dduuka ng’akozesa essimu.

Mungeri y’emu Ssali agambye nti enkola ya Momo Pay agenda kuyambako okukendeza abantu okutambula n’essente nga bagenda okusuubula n’okwongera obukuumi ku ssente.
Ssali era agambye nti tewali wadde 100 ekigenda okugibwa ku bakasitoma baabwe mu ngeri y’omusolo, abanaakozesa enkola ya MTN Momo pay.
