Kyaddaki Eddy Kenzo awagidde muyimbi munne Cindy Sanyu nti abamu ku bayimbi mu ggwanga lino bugologoosi (dummy) era y’emu ku nsonga lwaki tebasobola kuyimba ‘LIVE’ ku siteegi wabula “CD”.
Kenzo anokoddeyo ebimu ku bifuula omuyimbi ‘dummy’ era agambye nti, waliwo abayimbi abafuuse abamaanyi mu kisaawe ky’okuyimba nga kivudde ku manejja okukola ebintu ebyenjawulo omuli okubagulira ennyimba, engoye, okubatwala mu situdiyo ez’omulembe, Polodyusa abalungi, nga buli kimu, kikolebwa manejja.
Mungeri y’emu Kenzo agamba nti abawagizi baabwe baniriza buli muyimbi yenna alina ennyimba enungi era y’emu ku nsonga lwaki abayimbi nga manejja yakola buli kimu, tebasobola kuvuganya nnyo nga bavudde mu ggwanga lyabwe kuba babeera tebasobola kuvuganya n’abo abalina talenti.
Ebigambo bya Kenzo tebyawukana nnyo n’ebya Cindy bwe yali agamba nti Sheebah y’omu ku bayimbi ba ‘dummy’ kuba manejja we amukolera buli kimu, ekimufudde ow’amaanyi mu kisaawe ky’okuyimba.
Kenzo abadde ku 100.2 Galaxy FM mu pulogulamu Galaxy Xplosion ekubirizibwa Mr Henrie Danson buli Lwamukaaga.
Eddoboozi lya Kenzo