Omuyimbi Lydia Jazmine alaze nti y’omu ku bakyala abayimbi abalina omutima omulungi mu kuyamba abaana b’eggwanga abetaaga obuyambi.
Jazmine asobodde okweyambisa omukutu ogwa Twitter, okulaga nti waliwo omwana mulekwa Mirembe Mata myaka 2 gw’agenda okuyamba mu mbeera ezenjawulo omuli n’okusoma, “You Know The Most Beautiful Part Of It All, I Got Myself ADaughter Mirembe Mata, 2Years Old Orphan. We Fell In Love At First Sight I’m Officially Taking Over As Her Mommy Seeing Her Through School And All. Mukama Ngayemukuumi Waffe“.
![](https://www.galaxyfm.co.ug/wp-content/uploads/2019/04/JAZ.jpg)
Jazmine okuvaayo okuyamba omwana Mirembe kabonero akalaga nti akuze mu birowoozo, alina omutima omuzadde, ayagaliza abantu abalala era kino kye bayita abakyala okukweka ebyama nti alina omwana gwalabirira wadde siyamuzaala.
Omwana yamuggye ku ssomero lya bamulekwa erya God’s Gift Primary School mu bitundu bye Jinja.
![](https://www.galaxyfm.co.ug/wp-content/uploads/2019/04/Jaz-1.jpg)
https://www.instagram.com/p/BwrzkXyhvPZ/