Kabite W’omubaka wa Palamenti e Kyadondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine), Barbie Itungo akubye amasimu ag’okumukumu oluvanyuma lwa kkooti okusalawo okusindika bba ku Limanda mu kkomera e Luzira okutuusa nga 1, May, 2019.

Bobi Wine asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi wa kkooti ya Buganda Road era okusinzira ku ludda oluwaabi Bobi Wine, muganda we Fred Nyanzi Ssentamu, David Lule, Edward Sebufu n’abalala abakyalira ku nsiko, nga 11, July, 2018 wakati mu Kampala ku City Square , bakuba olukungana mu ngeri emenya amateeka n’ekigendererwa eky’okunga bannansi okugyemera okuwa omusolo ogwa Mobile Money, ekintu ekimenya amateeka nga ne Poliisi tebagitegezezaako.

Ku lunnaku olwo, kigambibwa Bobi yalemererwa okukolagana ne poliisi okukakkasa nti abantu abaali mu lukungaana lwe tebalina bissi kyokka omusango agwegaanye mu maaso g’omulamuzi Esther Nahirya.

Kkooti ekiriziddwamu abantu batono ddala omuli Famire okubadde Barbie, bannamateeka be nga bakulembeddwamu Asuman Basalirwa era omulamuzi asindise Bobi Wine ku Limanda mu kkomera e Luzira okutuusa sabiti ejja ku Lwokuna nga 2, May, 2019.

Oluvudde mu kkooti, Barbie akubye amasimu ag’okumukumu wakati mu kunyolwa kyokka tekimanyiddwa abadde ayogera bigambo ki, era abadde akubira ani?