Omuyimbi Sheebah Kalungi alaze ebika by’abantu munaana (8), buli muntu yenna by’alina okwegobako mu bulamu bwe, okusobola okulaakulana.
Sheebah asobodde okweyambisa omukutu ogwa Instagram okulabula abantu n’okusingira ddala abawagizi be, okwesonyiwa abantu bonna aboogera ebigambo okukulemya okwekulaakulanya.
Abantu abalala mwe muli abavumirira omulimu gwo, abayonoona obudde bwo, abalina ennugu, abatafaayo ku bulamu bwo n’abalala.
Sheebah agamba nti omuntu yenna ayagala okulaakulana, alina okwegobako abantu abo.