Nga bannayuganda bonna balindiridde okulonda kwa 2021 okulonda abakulembeze baabwe, omuli Pulezidenti w’eggwanga, ababaka ba Palamenti, Meeya wa Kampala n’abakulembeze abalala nate ku mulundi gunno, abantu bangi besuunze okwesimbawo.
Kigambibwa mukyala w’omubaka we Kyadondo East mu Palamenti, Robert Kyagulanyi ssentamu, Barbie Itungo omwaka 2021 agenda kwesimbawo ku ky’omubaka omukyala e Wakiso okuvuganya Minisita w’ebyenjigiriza ebisookerwako Rosemary Nansubuga Sseninde.
Wabula bangi ku balonzi balina ekibuuzo, Barbie wadde alina obuwagizi naye anaasobola okuggya Minisita Sseninde mu Palamenti?.
Okusinzira ku bantu ab’enjawulo abasobodde okuwayamu naffe, bagamba nti Barbie ne Minisita Sseninde bonna bakyala balina omutima omulungi era bonna balina obuwagizi mu bantu.
Mungeri y’emu bagamba nti Minisita Sseninde akoze nnyo okulakulanya abakyala mu Wakiso nga tayawuddemu kibiina kya byabufuzi omuli ebyuma ebikozesebwa mu bajjiro, ebyalaani mu bakyala, okusomesa abantu okufumba, ekimwongedde ettuttumu n’obugaanzi mu bantu.
Ate abakugu mu nsonga z’ebyenjigiriza bagambye nti Minisita Sseninde akoze ennyo okutumbula ebyenjigiriza mu ggwanga lyonna kuba mu disitulikiti y’e Wakiso, asobodde okuyamba amassomero okufuna ebikozesebwa omuli ebitabo, kompyuta n’okubazimbira ebizimbe ate bangi ku baana bafunye sikaala.
Bannabyabufuzi bagamba nti mu nsi buli kimu kisoboka ate abantu baagala nnyo enkyukakyuka, 2021, Barbie asobola okuwangula Minisita Sseninde ng’omubaka omukyala e Wakiso naye alina okukola ennyo okumatiza abalonzi.