Poliisi ya Flying squad e Masaka ekutte abantu 4 ku by’okubba number plate z’emmotoka ne basaba bannanyini mmotoka ssente.
Abakwattiddwa kuliko Bbale Kitasa 27 ne Habasa Charles 25 abatuuze b’e Kyotera.
Abalala kuliko Kamya Charles 36 ne Ssegawa Javira 48 nga batuuze b’e RaKai era bonna basangiddwa ne number plate ez’enjawulo.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Masaka ASP Kangave Paul, abakwatte bali ku misango gy’obutemu era essaawa yonna bakutwalibwa mu kkooti bavunaanibwe.
Kangave era asabye abatuuze okweyambisa Poliisi okukwata abantu bonna abenyigidde mu kubba Number Plate okusinga okubasindikira ssente.