Kkooti y’okuluguudo Buganda eyisiza ekibaluwa kibakuntumye eri omubaka we Kyadondo East mu Palamenti Robert Kyagulanyi ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine ne munne David Lule olw’okulemwa okweyanjula mu kkooti enkya ya leero.
Bobi Wine ne banne 4 bali ku misango gy’okutambula mu ngeri emenya amateeka omwaka oguwedde webaali beekalakasa nga bawakanya omusolo ogwa OTT.
Munnamateeka waabwe Abdullah Kiwanuka, asabye omulamuzi nti okwongerayo omusango bw’ategeezeza nti abantu be bakooye nnyo olunnaku olw’eggulo nga batuuse mu Kampala obudde bw’ekiro okuva mu mambuka ga Uganda.
Kiwanuka era asabye omulamuzi okulagira oludda oluwaabi, okubawa ebiwandiiko byonna n’obujjulizi bwe basuubira okweyambisa mu kiseera nga batandiise okwewozaako.
Olunnaku olwaleero mu kkooti mubaddemu Eddie Sebuufu amanyikiddwa nga Eddie Mutwe ne Nyanzi Fred Sentamu.
Omusango gwongezeddwaayo okutuusa nga 12, August, 2019.
Okusinzira ku ludda oluwaabi, abavunaanibwa mu July wa 2018 baali batambulira mu kibinja ku City Square mu Kampala nga bawakanya omusolo ogwa OTT nga tebagoberedde tteeka erya Public Order Management Act.