Omulamuzi wa kkooti ku luguudo Buganda Gladys Kamasanyu alangiridde nga 1, August,2019 okuwa ensala ye ku misango egivunaanibwa, eyali omusomesa ku yunivaasite y’e Makerere Dr Stella Nyanzi oluvannyuma lw’okulemererwa okuleeta abajulizi be yali awaddeyo mu kkooti abalina okumuwolereza.
Dr Nyanzi ali ku misango gy’okuvuma Pulezidenti wa Uganda Yoweri Kaguta Museveni ng’ayita ku mukutu gwa facebook era mu kkooti, omulamuzi Kamasanyu agambye nti Nyanzi okulemwa okuleeta abajjulizi mu kkooti, kabonero akalaga nti tabalina.
Dr Nyanzi yabadde asabye omulamuzi Kamasanyu ennaku, okunoonya ssente okulanga mu ngeri yonna esoboka omuli okuteeka mu mawulire abajjulizi abalina okuggya mu kkooti kyokka yagaanye okumuwa akadde kuba abantu bayinza okuggwamu essuubi mu kitongole ekiramuzi singa omusango gulwawo okusalibwa, omulamuzi kwe kusalawo nga August 1 omwaka guno ogwa 2019 awe ensala ye.
Nyanzi yawaayo pulezidenti Museveni ng’omujulizi asooka, n’agattako bapolofeesa b’e Makerere ne bannaddiini ku misango gy’okuvuma Pulezidenti Museveni ng’ayita ku mukutu gwa facebook kyokka kkooti Pulezidenti ne muggyaako kuba mu mateeka talina kuggya mu kkooti ng’akyali mu ofiisi eyo olwo ne basigala abajulizi 19 kyokka tewali aze mu kkooti.
Abajjulizi abalala kuliko akulira bambega ba poliisi mu ggwanga Grace Akullo, Fr. Gaetano Batanyenda, Bp. Zac David Niringiye, omumbejja Solome Nakaweesi, Frank Kitumba, Mustafah Mugisa, Polof. Suzan Kiguli, Polof. Slyivia Tamale n’abalala.
Dr Nyanzi abadde ku limanda mu kkomera e Luzira okuva mu November, 2018 ku misango omuli okukozesa obubi yintaneeti, okuvvoola ekitiibwa n’okunyiiza Pulezidenti Museveni.