Patrick Kasaija amanyikiddwa nga Pato Agaba ali ku misango gy’okuwaamba n’okutta Suzan Magara essaawa yonna bayinza okumuyimbula kakalu ka kkooti, oluvanyuma lw’oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Joanita Tumwikirize, okukirizza abajjulizi abaleteddwa.

Agaba ali mu maaso g’omulamuzi wa kkooti enkulu mu Kampala Yasin Nyanzi era mu kkooti aleese abantu 4 okumweyimirira okubadde kitaawe Christopher Kasaija, kojja we Richard Kagoro nga bonna batuuze mu Disitulikiti y’e Hoima.

Abalala kuliko mukwano gwe Ambrose Byona nga mutuuze we Kyengera mu Disitulikiti y’e Wakiso ne Arnold Ananura ssenkulu w’ekitongole ky’obwannanyini ekikuumi ekya Baka Security Firm.

Munnamateeka be kuliko Robert Mackay ne Richard Rugambwa era mu kkooti, Mackay asabye omulamuzi okuyamba okuyimbula omuntu we, akuba alina abaana abato balina okulabirira ate abadde mu kkomera mu South Africa ne Uganda okuva ogwokusatu, 2018 lwe yakwatibwa.

Omulamuzi Nyanzi asabye Pato okuleeta ebiwandiiko ebiraga nti amakaage agali ku kyalo Mawanga mu Divizoni y’e Makindye gage oba yasikira masikire.

Omulamuzi yasigadde okuwa ensala ye, essaawa yonna okuva kati.