Kkooti enkulu mu Kampala ekirizza abantu munaana (8) abavunanibwa omusango gw’okutemula eyali omwogezi wa Poliisi mu Andrew Felix Kaweesi okweyimirirwa.

Bano okuli Sheikh Abdu Rashid Mbazira (Abdu Sewajja), Higenyi Aramaathan Noordin (Taata Abdullazack), Yusuf Mugerwa (Wilson, Bruhan Balyejusa) ne Joshua Magezi Kyambadde (Abdu Rahman).

N’abalala Jibril Kalyango (Abu Aisha), Yusuf Siraje Nyanzi (Jimmy Ssentamu) ne Shafik Kasujja basimbiddwa mu maaso g’omulamuzi Lydia Mugambe era agambye nti bonna batuukirizza obukwakulizo okubakkiriza okweyimirirwa mu kkooti.

Omulamuzi Mugambe alagidde omuwandiisi w’ekitongole ekya ICD okwanguyiriza okutekawo olunnaku okuwulira omusango kuba abavunaanibwa bakulungudde ku limanda emyaka egisukka 2.

Kyokka bano okweyimirirwa kwabwe kuyigidemu kigoye wezinge oluvanyuma lw’abamakomera okuleeta ebiwandiko ebiraga nti betaagibwa mu kkooti esookerwako e Nakawa ku misango emirala gye babadde batamanyi.

Assistant Superintendent of Prisons, Ekalam agambye nti nga 23, May, 2019 yafuna ekiwandiiko okuva mu kkooti esookerwako e Nakawa okutwala abavunaanibwa mu kkooti ku misango emirala.

Wabula Omulamuzi Mugambe agambye nti ye akirizza abavunaanibwa bonna okweyimirirwa era ensonga zisigadde ne kkooti y’e Nakawa.

Kinnajjukirwa nti Andrew Felix Kaweesi, yakubwa amasasi agaamuttirawo nga 17, March, 2017 n’omukuumi we Kenneth Erau ssaako ne Dereeva we Godfrey Mambewa e Kulambiro mu Divizoni y’e Nakawa okumpi n’amakaage.