Kyaddaki Zari Hassan agamba nti mu bulamu bwe yali ayagala nnyo omuyimbi Diamond Platnumz kuba yali ategeera kye bayita laavu.
Zari agamba nti yali yawa Platnumz obulamu bwe n’omutima gwe kuba yali amwagala nnyo era mu kiseera nga bali bombi, ye musajja yekka eyali afukirira vuvuzera ye.

Mungeri y’emu agambye nti Platnumz yamumenya nnyo omutima okwagala abakyala abalala mu kiseera nga bali bombi n’okutyoboola ekitiibwa kye era yali alina okumuviira mu maka ge okusobola okufuna emirembe.