AKULIRA Dawa mu ofiisi ya Supreme Mufti e Kibuli, Sheikh Nuuhu Muzaata Batte awagidde ekya Rema Namakula okufuna omusajja omulala Dr Hamza Ssebunya kuba ye ali siriyasi mu nsonga za laavu.
Muzaata agamba nti Eddy Kenzo abadde alemeddwa okulaga nti Rema amwagala kuba asobodde okuwangala naye emyaka 5, amuzaalidde omwana kyokka alemeddwa okumuwoowa.
Agamba nti Rema yakozze okusalawo okw’ekintu ekikulu okufuna omusajja era bageenda kumuwoowa kyokka Kenzo ali mu kulogotana mu kiseera kino.
Sheikh Muzaata agamba nti Kenzo ne Rema babadde bajjoga Allah emyaka 5 nga bali bombi kuba babadde balya ebintu nga sibawoowe.