Kyaddaki Eddy Kenzo ayogedde amazima lwaki abadde aluddewo okukuba Rema Namakula embaga wadde abadde mukyala we okumala emyaka 5.

Mu kiseera kino Kenzo ali mu ggwanga erya Colombia okunoonya ssente era alina ebivvulu eby’enjawulo mu ggwanga eryo.

Kenzo agamba nti, “omusajja yenna alina okwetegereza omukyala mu mbeera zonna nga tonaba kumuwasa mu butongole so kyandibadde kirungi omuntu yenna nosooka wetegereza munno nomanya nti yoono gwe netaaga kuba this is the Person your going to spend the rest of your life with, kiba kitegeeza nti yeye ate yegwe oba oli willing okufesinga buli kizibu kyonna ekiba kize, mu mbeera eyo kitegeeza nti omuntu wandimusitadinze nnyo n’obeera naye nemwekola buli kintu kyonna ne mulwana nga tonaba kumugamba nti nkonfaminze gwe aliberawo ebbanga lyonna, omanyi famire wali obaddeko n’omuntu maama wo, lwaki osobola okubeera ne maaama wo mu mbeera yonna, nti oba okimanyi nti teriba mulala mu bulamu bwo, kyandibadde kirungi n’omuntu ono (omukyala) n’omuteeka mu bigere nti ono omuntu mwagadde era tewaliba mbeera yonna eyinza kutwawula naye kiswaza nnyo abantu okwambala kadaali ne muyita abantu ate ne mwawukana nga mwayita abantu mubaanga abasiriwaza ensi yonna era muba muswadde nnyo”.

Ebigambo bya Kenzo kiraga nti abadde alina ensonga ez’enjawulo lwaki abadde aluddewo okukuba Rema embaga era biraga nti Dr. Sebunya alina okwegendereza nnyo awadde Rema amututte okumwanjula mu bazadde be nga 14, November, 2019, e Nabbingo ku lwe Masaka.