Ensonga za Eddy Kenzo okulya ebisiyaga zitabudde abantu ab’enjawulo omuli n’abaana ba Triplets Ghetto Kids abeegulidde erinnya mu kuzina amazina mu nnyimba z’abayimbi ab’enjawulo.
Kenzo agamba nti Sheikh Nuhu Muzaata okugamba nti abasajja abateeka ppini mu matu, abasinga obungi mu ggwanga erya America balya ebisiyaga, alina okumwetondera.
Ebigambo bya Muzaata yabyogera mu kiseera nga Kenzo ali mu ggwanga erya America era y’emu ku nsonga lwaki Kenzo agamba nti yali agamba ye kuba mu Uganda y’omu ku bayimbi abasajja abalina ppini mu matu.
Wabula n’omuwala Patricia Nabakooza okuva mu Triplets Ghetto Kids naye avuddeyo ku nsonga za Kenzo.
Patricia agamba nti, “Nze musajja alina empisa enungi era ebigambo ebimwogerwako nange binkosezza nnyo kuba olwa Kenzo y’emu ku nsonga lwaki ndi mu ssomero, y’emu ku nsonga lwaki manyikiddwa mu Uganda ate alina abantu bangi abamwegomba n’okusingira ddala abaana abali ku nguudo. Ebyogerwa nti Kenzo alya ebisiyaga abantu balina okubikomya kuba bityoboola ekitiibwa kye n’okumalamu amaanyi abantu abamwegomba“.
Patricia era agambye nti,”Kenzo yali ku nguudo, teyasoma kyokka asobodde okweyambisa talenti y’okuyimba okulaga abaana abali ku nguudo nti buli kimu kisoboka kyokka mu kiseera kino ebyogerwa, bimalamu abaana amaanyi ate nga bamuwayiriza“.