Kyaddaki omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni awadde omuyimbi Catherine Kusasira ne Mark Bugembe amanyikiddwa nga Buchaman obukulembeze.

Okusinzira ku mawulire getufunye, Kusasira awereddwa omulimu gw’okuwabula Pulezidenti Museveni ku nsonga za Kampala ate Buchaman okukwasaganya ensonga z’abantu abawangalira mu Ghetto.

Museveni bwe yabadde asisinkanyeko abavubuka mu bitundu bye Makindye ku kisaawe kye Katwe akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo ku Lwomukaaga, yagambye nti bangi ku bannabyabufuzi ku ludda oluvuganya gavumenti bannanfuusi.

Museveni agamba nti bano bakozesa ebintu bya gavumenti kyokka ne bamala ne bagivumirira nga bweri embi ennyo.

Ku mukolo gwo, Buchaman yalaze Pulezidenti Museveni nti akooye embeera embi era mwetegefu okumuwagira mu mbeera yonna n’okunoonya obuwagizi.