Sipiika wa Palamenti omukyala Rebecca Kadaga alagidde ababaka ba Palamenti bonna n’abakozi ba Palamenti okulinya ennyonyi z’eggwanga eza Uganda Airlines singa basindikibwa ku mirimu gy’eggwanga emitongole.
Okusinzira ku kiwandiiko kya Sipiika, ekyateekebwako omukono, nga 16, October, 2019, kino kye kiseera nga Palamenti okuwagira ennyonyi z’eggwanga, oluvanyuma lw’okutandiika okuwereza mu butongole.
Ekiragiro kya Sipiika, kyasindikiddwa mu offiisi ya Kilaka wa Palamenti Jane Kibirige, ne bawaako n’amyuka sipiika wa Palamenti Jacob Oulanyah ssaako n’ababaka ba Palamenti bonna.
Kadaga alagidde Kilaka wa Palamenti, okulaba nti buli mukozi yenna ku Palamenti yeyambisa ennyonyi z’eggwanga mu ngeri y’okuziwagira singa aba asindikiddwa ku mirimu emitongole.
Ku nsonga eyo, omubaka Fredrick Angura akikirira abantu b’e Tororo South awagidde okusalawo kwa Kadaga kuba kigenda kuyamba nnyo ennyonyi y’eggwanga okuyingiza ensimbi.
Ate omubaka w’e Nakaseke South, Ssemakula Lutamaguzi agamba nti okusalawo kwa Kadaga kugenda kumulemesa okutambula ku mirimu gy’eggwanga kuba kiswaza okusindikiriza abantu okulinnya ennyonyi gye bateesiga.