Omuyimbi Eddy Kenzo aswadde kuba Rema Namakula agaanye okumuyita ku mukolo gwe ng’ayanjula bba Dr. Hamza Ssebunya mu bazadde nga 14, November, 2019 e Nabbingo ku lwe Masaka.

Sabiti eno ku Lwokuna, Kenzo bwe yabadde ayogerako eri bannamawulire ku Méstil Hotel e Nsambya, yagambye nti, “singa nfuna kaadi y’omukolo mu mutima omulungi, nina okugenda ku mukolo gwa mukwano gwange Rema kuba yafunye omusajja alina ebisanyizo bye yetaaga mu bulamu bwe era nze nja kwambala ekkanzu yange, mbeerewo ku mukolo“.

Wabula Issa Musoke, akulira olukiiko olutegeka okwanjula kwa Rema, agambye nti abantu bonna abalina okuggya ku mukolo baafuna dda kkaadi ezibayita ku mukolo.

Musoke bw’abadde awayamu naffe ku lukomo lw’essimu agambye nti, “tewali mukisa gwonna kuddamu kukubisa kaadi ndala wadde okuyita abantu abalala kuba entekateeka zonna zaggwa dda era omuntu yenna atanafuna kaadi, kiraga nti tayitiddwa“.

Ebigambo bya Musoke kabonero akalaga nti tewali mukisa gwonna Kenzo okugenda mu kwanjula kwa Rema kuba wadde ayagala nnyo, talina kaadi emukiriza kuyingira ku mukolo.