Bya Nalule Aminah

Poliisi mu Kampala etandiise okunoonyereza ku ngeri omusomesa ku St Peter’s Primary School Nsambya gye yasobeza ku bayizi atanetuuka.

Tuhairwe Felix myaka 35 nga Munyankole yakwattiddwa ku by’okusobya ku mwana myaka 10.

Okusinzira ku mw’amyuka omwogezi wa Poliisi mu ggwanga Polly Namaye, omwana bamusobezaako okuva ttaamu ey’okubiri (2nd term) okutuusa omusomesa lw’akwattiddwa mu ttaamu ey’okusatu (3rd term) ng’azzeemu okumusobyako.

Namaye agamba nti alipoota y’abasawo eraga nti omwana abadde asobezebwako kyokka abazadde okulemwa okufuula abaana mikwano gyabwe y’emu ku nsonga lwaki kiruddewo okumanyika.

Omusomesa Tuhairwe ali mikono gya Poliisi mu kiseera kino ku musango gw’okujjula ebitanajja era okunoonyereza kugenda mu maaso.