Dr Innocent Nahabwe, Direkita wa 100.2 Galaxy FM alondeddwa okumyuka ssentebbe w’ekibiina ekigatta bannannyini leediyo, ttiivi ne Website mu ggwanga ekya National association of Broadcasters of Uganda.
Ku mukolo ogubadde ku Africana Hotel mu Kampala, Dr. Nahabwe basobodde okukwesiga okulondebwa, okumyuka ssentebbe Dr Kin Kariisa owa NBS.
Bw’abadde awayamu naffe, Dr. Nahabwe eyakuwandikira akatabo ‘Treating Small Business‘ asanyukidde bammemba okumwesiga era agambye nti akakiiko kaabwe kalina eddimu ly’okuteeka mu nkola ebigendererwa bya bannamikutu omuli okutumbula enkolagana wakati waabwe ne Gavumenti ssaako n’ekitongole ekivunaanyizibwa ku biweerezebwa ku mpewo ekya Uganda Communications Commission (UCC).
Mungeri y’emu agambye nti omuntu yenna okulondebwa ku kakiiko, bannamikutu balina okumwesiga okufuna omuntu anaabakulembera era omuntu yenna alondeddwa alina ekisanja kya myaka ebiri (2).
Ate okumalawo okusika omuguwa wakati wa UCC ne bannamawulire mu kiseera ky’okulonda, Dr. Nahabwe agambye nti, “tugenda mu mwaka ogulimu ebyobufuzi ate ekyo kibeera kiseera kya mbirigo so tugenda kulaba nga tuteeseganya bulungi ne UCC okulaba nga twongeramu enkolagana gye tulina ffe nga abalina emikutu gye mpuliziganya ne UCC“.