Omumyuka w’omwogezi wa Gavumenti Col. Shaban Bantaliza alabudde abantu bonna abegwanyiza entebe ya Pulezidenti okukiggya mu birowoozo byabwe.

Ku lunnaku Olwomukaaga, mu  lukungana lwa bannakibiina kya NRM mu Kampala ku Nakivubo Blue Primary School, Col. Bantaliza yagambye nti asaasira nnyo abantu abalowoozo nti Gavumenti ya NRM esobola okuwaayo obuyinza kuba ekyo kisobola okubazaayo mu nsiko okubakolako. Mungeri y’emu yagambye nti alina emmundu satu (3) mu mmotoka ye ezirindiridde okukola mulimu. Agamba nti Bobi Wine ne banne baddembe okweyambisa kasukaali kyokka bbo tebasobola kweyambisa kasukaali bakozesa muliro era balina okweyambisa omuliro okuzikiza kasukaali okusobola okukuuma emirembe, “I pity people who think NRM government will hand over power, we would rather go back to the bush to sort these people. I have my three guns on standby in my car, let Bobi Wine and his group continue with their kasukali (sugar), for us we don’t use kasukali, we use fire and indeed we shall use fire to put off that kasukali to maintain peace“.

Ebigambo bya Col. Bantaliza, bangi ku bannansi bamutabukidde nga bagamba nti bigendereddwamu kutiisatiisa okubaggya ku mulamwa gw’okulonda abakulembeze baabwe mu kulonda kwa 2021.
Mungeri y’emu bagambye nti alina okwetondera eggwanga kuba kimenya amateeka okutiisatiisa abantu.