Kyaddaki Ssenga Kawomera akubye ttooci mu bufumbo bwa Rema Namakula ne bba Dr. Hamzah Ssebunya oluvanyuma lwe nnaku 22 nga beyanjudde mu bazadde e Nabbingo ku lwe Masaka.
Ssenga Kawomera agamba nti, essannyu ly’omu kisenge, y’emu ku mpagi luwaga eziyimirizaawo amaka mu mbeera yonna.
Mu nsi y’omukwano, singa omukyala oba omusajja tafuna bulungi ssannyu lya ng’ali mu kisenge, obufumbo busaanawo olw’obwenzi nga buli omu anoonya omuntu ayinza okumukyamula.
Ssenga Kawomera agamba nti mu kiseera kino, Rema ali mu laavu nnyo ne bba Dr. Hamzah era ensonga z’omu kisenge zitambula bulungi nnyo era y’emu ku nsonga lwaki Rema afunye omubiri ate mukyala musanyufu ennaku zino.
Ku nsonga ya Rema okwejjusa okuva mu bufumbo bwa Kenzo, Ssenga Kawomera agambye nti, “Rema tasobola kwejjusa kuba Kenzo yali alowooza nti ssente zikola buli kimu, mwana waani gw’osuula mu maka emyaka 2, naye muntu yali afuna feeling. Ffe abakyala twagala nnyo omusajja atuukiriza ensonga z’amaka n’okusingira ddala mu kisenge wadde talina nnyo ssente. Abantu bangi nnyo abali mu bufumbo nga basanyufu nnyo kuba afuna omukwano ogujjudde ebirungo ate abakyala abangi abali mu maka nga bba ssente zimuyitaba kyokka nga talina ssannyu mu bufumbo“.
Ebigambo bya Ssenga Kawomera, kabonero akalaga nti waaya wa Dr. Hamzah nkoowu nnyo kuba alina okuwa Rema essannyu obutejjusa mu bulamu bwe.