Eby’okuwuliriza emisango egivunaanibwa omusuubuzi Matthew Kanyamunyu egy’okutta Kenneth Akena byongezeddwayo okutuusa omwaka ogujja ogwa 2020.
Kanyamunyu ali ku misango gy’obutemu ssaako ne mukyala we Cynthia Munwangari wamu ne muganda we Joseph Kanyamunyu.
Omusango gubadde gusuubirwa okutandiika enkya ya leero kyokka omulamuzi wa kkooti enkulu mu Kampala Steven Mubiru alangiridde wakati wa 8 ne 10, January, 2020, omusango okutandiika.
Okusinzira ku ludda oluwaabi, nga 12, November, 2017 Kanyamunyu, bwe yali ne muganzi we Munwangari mu mmotoka kika kya V8 Land Cruiser Prado nnamba UAW 548W nga bali e Lugogo, Akena yakalabula emmotoka yaabwe.

Mu bukambwe obungi, kigambibwa nti, Kanyamunyu yaggyayo basitoola n’amukuba amasasi asatu (3) mu lubuto n’agwa wansi naye olw’okutya abantu okumuzingako, yaddusa Akena mu ddwaaliro lya Norvik n’ategeeza abasawo nti amuyambye n’amutaasa obulamu kyokka Akena bwe yali asemberedde okufa, yategeeza abasawo ze nti Kanyamunyu y’amukubye amasasi.
Kigambibwa, oluvannyuma lwa Kanyamunyu okutegeera nti, agudde mu buzibu yakubira muganda we Joseph Kanyamunyu essimu, eyajja ku ddwaaliro, okuggya basitoola mu mmotoka n’agikweka.

Joseph Kanyamunyu ali ku musango gw’okuyambako muganda we Kanyamunyu okukweka obujulizi bwe yakweka emmundu ekika kya basitoola eyakozesebwa okutta Akena kyokka byonna yabyegaana.
Bonna abasatu (3), bayimbulwa dda kakalu ka kkooti era okwewozaako baakuva mu maka gaabwe.

Akena eyattibwa, yali mulwanirizi wa ddembe ku myaka 33.