Patricia Nabakooza eyali mu vidiyo ya ‘Sitya Loss’ eya Eddy Kenzo okuva mu Ghetto Kids alaze nti mwetegefu okulwanyisa abasajja bonna abatandiise okwesowolayo okumulemesa emisono.

Patricia yatudde S4 omwaka gunno era mu kiseera kino ali mu luwumula kyokka ebiseera bye eby’eddembe aba mu kwekubya ebifaananyi ng’amba ‘selfie’ n’okugenda mu situdiyo.

Ku mukutu ogwa Face Book, bangi ku bavubuka bagamba nti, ‘omwana akuze mu birowoozo era kekaseera abaweeko mu nsonga z’omukwano” kyokka ye alaga nti sibyaliko.

Patricia mu ngeri y’okulaga nti ye mwetegefu okwekuuma aguze akambwa okumukuuma okulemesa abavubuka abamulemeddeko nga bamusaba akaboozi ku myaka gye era akambwa akawadde ebiragiro ebikambwe.