Omuyimbi omuto Patrick Ssenyonjo amanyikiddwa nga Fresh Kid, omuyimbi wa Hip Hop, John Blaq ne munnakatemba ow’erinnya Martha Kay beetise omwaka 2019 mu Uganda ng’abantu bebasiinze okunoonyerezebwako ku mutimbagano gwa ‘Google’.
Fresh Kid gwe basiinze okunoonyerezaako mu 2019 n’ennyimba ze n’okusingira ddala oluyimba lwe ‘Bambi’.
Mu 2018, yali waggulu nnyo mu kiseera nga Minisita w’abavubuka n’abaana, Florence Nakiwala Kiyingi ayingidde mu nsonga ze, manejja n’abazadde, Fresh Kid asobole okudda ku ssomero.
Ate omuyimbi John Blaq akutte kyakubiri kuba mu Uganda, omwaka 2019 y’omu ku bayimbi ababadde ku ntiiko mu kisaawe ky’okuyimba. Ku ‘Google’ abantu n’okusingira ddala okuva ebweru w’eggwanga banoonya erinnya John Blaq n’ennyimba ze n’okusingira ddala Makanika ne Do dat.
John Blaq yazaalibwa mu 1996 mu bitundu bye Jinja era akubye ennyimba ezenjawulo omuli Obubaddi, Tukonnectinge, Ebyalagirwa, Maama Bulamu, Sweet Love n’endala.
Ate Munnamateeka Martha Kay ali mu Kyakusatu ku bantu abanoonyerezeddwaako ennyo mu 2019. Martha Kay abadde nnyo mu mawulire olw’okuzannya katemba mu ngeri eyenjawulo ate nga muwala mulungi.
Nga 26, May, 2019 Martha Kay yagwawo ekigwo olw’ebifaananyi bye ng’ali bukunya okufuluma. Okusinzira ku ‘Google’, wakati wa May, June, July, Martha Kay, yali nnyo waggulu ng’abantu bamunoonyerezaako mu Uganda n’ebweru.