Kyaddaki Pasita Wilson Bugembe owa Light the World Ministries e Nansana ebikudde ekyama, agambye nti obulamu bwa Edwin Katamba amanyikiddwa nga MC Kats myaka 36 butambulira ku mukyala we Fille Mutoni myaka 28.

Sabiti ewedde, Fille yategeeza nti MC Kats taata wa mwana we era mwetegefu okumuwagira mu mbeera yonna wadde waliwo ebigambo by’abantu.

Ku nkomerero y’omwaka oguwedde ogwa 2019, MC Kats yalangirira nti alina akawuka akaleeta siriimu era awangadde n’obulwadde emyaka egisukka 13 nga mu kiseera kino ali ku ddagala lya siriimu.

Wabula Pasita Bugembe ku nsonga za MC Kats agamba nti, “Obulamu bwe butambulira ku mukyala we Fille, ayagala nnyo Fille n’abaana be nnyo nnyo nnyo, kati ne Fille yakomyewo bamukwano basisinkana, bw’abeera ne Fille atereera then eddagala alimira bulungi nnyo, olumu tasulayo awaka, agenda nabeera ne mukyala we oba Somewhere“.

Mungeri y’emu Pasita Bugembe agambye nti MC Kats yetaaga okuwumula mu kiseera kino n’abantu okumusabira wadde ayagala nnyo endongo.