Muwala wa Frank Gashumba, Sheilah Gashumba alaze nti tewali muntu yenna ayinza kubaawula wakati we ne bba Ali Lwanga amanyikiddwa nga God’s Plan.
Sheilah bw’abadde ayagaliza God’s Plan amazaalibwa amalungi ku mukutu ogwa Instagram, alaze nti laavu ye tewali ayinza kugiremesa.

Mu bigambo bye, alaze nti musanyufu nnyo okuddamu okukuza amazaalibwa ga God’s Plan nga bali bombi emyaka 2 ate ng’ali mu ssanyu wakati mu laavu.
Sheilah era agambye nti y’omu ku bantu abalina omukisa ku nsi kuba mu kiseera kino ali n’omuntu omutuufu mu bulamu bwe kuba asobodde okumwagala mu mbeera yonna nga bayita mu kusoomozebwa.

Mungeri y’emu asabye Omutonzi okuwangaza bba God’s Plan nga mulamu, alina emirembe, essannyu, obugagga ate ng’alina okwagala kuba musajja wanjawulo nnyo mu bulamu bwe.

Ku Instagram, Sheilah agambye nti, “Meeting you was all God’s plan and I’m glad to celebrate your second birthday since we met. I could spend an entire year talking about how amazing you are. I have been so happy since you have been a part of my life. I don’t know what I would have done without you. I am the one of the luckiest people on Earth because I have the most wonderful person by my side. Thank you for being my rock. It is easy to fall in love with you but staying in love with you is even easier and like I always tell you, loving you is a privilege but being loved by you is a blessing. I hope this new age comes with good health, peace, happiness, wealth and lots of love. May God continue to bless you and protect you in this world!To the world, you’re just a guy but to me you’re worth more than all I ever wished for, you’re my soulmate, my best friend, my gist partner, my brother, a lover and lastly my man. Happy Birthday my king @callmegodsplan. I call you mine because you made me your

Ebigambo bya Sheilah biraga nti akutudde Kitaawe Frank Gashumba omutima kuba mu myaka 2 talina ntekateeka yonna okwanjula bba God’s Plan mu bazadde.
Mungeri y’emu alaze nti Kitaawe tasobola kuteekawo mbeera yonna kubaawula kuba ali mu laavu mu kiseera kino.