Wakati nga bangi ku bayimbi mu ggwanga Uganda bayingidde ebyobufuzi okwesimbawo ku bifo eby’enjawulo oba okuwagira abantu baabwe mu 2021, nate abayimbi abato, bafunye omukisa okuvaayo okuvuganya mu kisaawe ky’okuyimba.
Wosomera bino, nga muzzukulu w’omugenzi Elly Wamala, Joshua Benon Lukwata amanyikiddwa nga Lukwatsss myaka 21 naye avuddeyo okulaga eggwanga nti naye alina talenti nga jjajja we.
Lukwatsss y’omu ku bayimbi abato mu kiseera kino era aboogerwako olw’engeri gy’ayimba.
Ezimu ku nnyimba ezimufudde ow’enjawulo ku banne kuliko Mona Lisa, She Says, BullDozaa, Milan, Tib, Kapable, Dakota n’endala.
Agamba nti alina esuubi okuwangula ku Award ya ‘BET’ nga Eddy Kenzo kuba ennyimba ze ne 2020 zisobola okuba ezimu kwezo ezivuganya mu nsi yonna.