Omuyimbi Eddy Kenzo agambye nti tasobola kuddamu kwebaka mu nnyumba ye Sseguku kuba emujjukiza ebintu bingi nnyo mu bulamu bwe.
Kenzo agamba nti mu kiseera kino, singa afuna omuntu yenna ng’amuwa ssente zeyetaaga, ennyumba agitunda oba okugipangisa wabula ye tasobola kuddamu kugisulamu.
Agamba nti yagula ennyumba mu kiseera ng’ali mu laavu ne mukwano gwe Rema Namakula kyokka mu kiseera kino yageenda nga tasobola kuddamu kugisulamu kuba emujjukiza ebintu nkumuliitu.
Mungeri y’emu agambye nti Rema okumutegeeza nti yafunye omusajja omulala (Dr. Hamzah Ssebunya) ng’akyali e Sseguku, ng’omusajja omulala yenna afuna okwekengera.
Ebigambo bya Kenzo, biraga nti alina okulowooza nti Rema yatwalanga Dr. Ssebunya mu maka g’e Sseguku mu kiseera ng’ali bweru wa ggwanga ne bakoleramu ebintu eby’enjawulo omuli n’okunyumya akaboozi.
Olowooza Kenzo mutuufu era agwanidde okwesonyiwa amakaage?