Omuyimbi Kiggundu Bruno amanyikiddwa nga Bruno K alaze nti ye yakoowa ekintu laavu kuba yaliko mu mukwano n’omuwala gwe yali asinga okwagala kyokka namusuulawo.
Bruno K bwe yabadde ku NTV mu Pulogulamu ‘Mwasuze Mutya’ yagambye nti mu bulamu bwe, yakoowa dda abawala abato, abakyala abalungi kuba buli musajja aba amukwana ate abawala abato tebamanyi kye bagala.
Yagambye nti yaliko mu laavu n’omuwala omuto ate nga mulungi nnyo nga yakatandiika okuyimba kyokka bayawukana dda olw’empisa ze embi.
Bruno K bwe yabadde atunudde mu maaso ga Nakazibwe, yagambye nti yali alina entekateeka z’okuwasa kuba omuwala yali mulungi kyokka olw’abasajja okumukwana ennyo, yamusuulawo nga yakamuwa empeta emusaba obufumbo ya mitwalo 80.
Mungeri y’emu yalopedde Nakazibwe nti empeta, omuwala yagisuula mu mwala kuba yali afunyeyo abasajja abalala abamutwala n’ebweru w’eggwanga okulya obulamu, bamuwa emmotoka ez’ebbeeyi ssaako n’okumusuubiza ensi n’eggulu.
Ebigambo bya Bruno K, Nakazibwe yalaze nti naye asobeddwa omuvubuka omuto okuba mu laavu kyokka nga mu kiseera kino ali mu maziga n’okwejjusa kuba omuwala yali amulemeseza n’omuyimba.