Kyaddaki Omuyimbi Eddy Kenzo asemberedde okufuna omukyala omulala okudda mu bigere by’omuyimbi Rema Namakula nga bweyasuubiza okuwasa mu 2020.
Mu kiseera kino Kenzo talina mukyala amanyikiddwa kyokka eyali mukyala we Rema, yafuna dda omusajja Dr. Hamzah Ssebunya okuwona empewo y’ekiro.
Wosomera bino ng’omuwala Nankya Slyvia okuva e Luweero agamba nti mu Uganda, Kenzo ye musajja yekka gwe yeepikira oluvanyuma lwa Rema okumusuulawo.
Nankya agamba nti talina musajja mu kiseera kino, alindiridde Kenzo kuba ye musajja gwayagala.
Mungeri y’emu agambye nti Kenzo, “simwagalako bulungi bwe, simwagalako ssente ze, nze mwagala nga ye omuntu, njagala abeere bba wange, anjagale tukole omukwano, tuzaale abaana, mbeere mukyala we official“.
Mungeri y’emu agamba nti yafuna essannyu olwa Rema okusuulawo Taata Aamaal Musuuza Malaika kuba yafuna omukisa naye okusaba Kenzo obufumbo era asuubiza okulabirira omusajja mu mbeera yonna.
Nankya agamba nti alina emyaka 24 era atunda mu botiiki mu disitulikiti y’e Luweero.
Vidiyo Okuva ku Bukedde TV