Aba Safe Boda Uganda bawanjagidde Gavumenti okwongera okuteeka amaanyi mu tekinologiya kuba kigenda kuyamba nnyo bannayuganda okumwaniriza n’okumutegeera obulungi.

Aba Safe Boda nga bakulembeddwamu Ricky Rapa Thomson omu ku bannanyini kutandikawo Safe Boda agamba nti Gavumenti ekyalemeddwa okuteeka ssente ezimala mu kutumbula tekinologiya, ekiviriddeko bannayuganda obutamutegeera bulungi.

Agamba nti okutumbula tekinologiya mu ggwanga, Gavumenti erina okuteeka ssente okusomesa abantu okutegeera kye bakola, okutekawo ssente ezimala abayizi okufuna ekyetagisa kuba singa tekikolebwa, abayizi abandyagadde okutumbula tekinologiya, bayinza okuddukira mu nsi z’ebweru.

Mu kwogerako eri bannamawulire ku kitebe kyabwe e Kamwokya mu lukungana lw’abatandika Safe Boda, Ricky Rapa agamba nti balina okutema empenda, okutwala enkola Safe Boda mu ggwanga lyonna n’okusomesa abantu enkola yaayo.