Patricia Nabakooza owa Ghetto Kids akutudde ddiiru n’omuyimbi Sheebah Kalungi mu kumanyisa bantu ebikwata ku paadi ze n’okuzitunda mu ggwanga lyonna.

Sheebah kuntandikwa y’omwaka guno ogwa 2020, yatandiise okufulumya Paadi ‘Holic Pads’ ku layisi okuyamba ku baana abawala n’okusingira ddala mu byalo abawanduka mu masomero olw’okubulwa ebyetaagisa nga bali mu nsonga.

Amawulire getufunye, galaga nti Sheebah yawadde omuwala Patricia ddiiru, okumweyambisa mu kulanga paadi mu ggwanga ku bipande ne ku mitimbagano gy’amawulire omuli Face Book, Instagram n’emirala ya bukadde bwa ssente.

Omu ku mwana mu kibiina kya Ghetto Kids agaanye okwatuukiriza erinnya lye, agambye nti Sheebah yawadde Patricia ddiiru okunoonya ssente ezinaamuyamba mu misomo.

Omwaka oguwedde ogwa 2019, Patricia yatuula S4 era yakola bulungi nga mu kiseera kino yetaaga ssente za S5, S6 ne yunivaasite.