Omubaka we Kyadondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine asobeddwa olwa Poliisi okumulemesa okulaba ku mukwano gwe era omubaka wa Monisipaali y’e Mityana Zaake Francis.

Omubaka Zaake yakwattibwa ku Ssande okuva mu makaage ku kyalo Buswabulongo – Mityana kubigambibwa nti yali agyemedde ebiragiro bya Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni naasalawo okuwa abantu emmere ku kyalo kye, ekiyinza okusasaana obulwadde bwa Kolona.

Reachel Kawala omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Wamala agamba nti Zaake ali ku misango omuli okugyemera ebiragiro bya Pulezidenti Museveni, okugezaako okutta abantu n’obulagajjavu obuyinza okuvaako okusasaanya obulwadde mu bantu.

Bukya Zaaka akwattibwa, abadde ku kitebe kya Poliisi e Kireka, ekikola ku by’okunoonyereza.
Wabula enkya ya leero, Zaake atwaliddwa mu ddwaaliro ekkulu elye Naguru oluvanyuma lw’okulumbibwa ekirwadde ng’ali mu kaddukulu ka poliisi.

Akawungeezi ka leero, Bobi Wine abadde agenze mu ddwaaliro okulaba ku mubaka munne ate mukwano gwe Zaake wabula alemeseddwa abasirikale era asigadde akukuluma.

Bobi agamba nti abadde ne Nubian Li kyokka bagaaniddwa okuyingira mu ddwaaliro nga balina kudda nkya ku Lwokutaano oba ku lunnaku olulala.


Mungeri agamba nti wadde waliwo abakkiriziddwa mu ddwaaliro omuli munnamateeka Asuman Basalirwa, tewali akiriziddwa kutwala ssimu munda, kuba abadde eyinza okukuba ekifaananyi kya Zaake.

Bobi Wine era agambye nti wadde Zaake yakwattiddwa lwa kuwa bantu mmere kyokka abasirikale baamutulugunyizza nga bamulaanga okuwakanya n’okuvuganya Pulezidenti Museveni.

Bobi Wine agamba nti, “Our brother and comrade Hon. Zaake Francis was arrested on Sunday and beaten so badly! The man who was very energetic on Sunday is now being treated at the Iran-Uganda hospital in Naguru. These past days, people have been denied access to him, including his personal doctors, lawyers and family members. Today, they allowed a few people to see him although they were all prohibited from going in with phones so that they don’t take his pictures!

As soon as I arrived at the hospital with Nubian Li, they deployed dozens more police officers who came with anti-riot equipment! You can imagine the fear! They denied me access to him and asked me to return tomorrow or another day. Hon. Zaake has narrated such a tale to those who have been lucky to access him. They did unspeakable things to him. Upon arrest, they did not even talk much about food distribution- it was all about intimidating him and demanding that he stops opposing Museveni”.

Ebigambo bya Bobi Wine biraga nti abakuuma ddembe tebamumanyi era tebaagala kumanya wadde y’omu ku bantu abasukka 20 abegwanyiza entebe y’obukulembeze bw’eggwanga lino mu kulonda kwa 2021.