Okutya kweyongedde mu bakulembeze mu disitulikiti y’e Mukono olwa Corona Virus ayinza okusasaana mu kitundu kyabwe nga kivudde ku baddereeva abatambuza ebyamaguzi abatera okuyimirirako e Namawojjolo katale nga bagula eby’okulya omuli Enkoko, embuzzi, Gonja n’ebirala, abayinza okuvaako obulwadde.
Mu kiseera kino, Uganda yakazuula baddereeva 20 okuva mu ggwanga erya Kenya ne Tanzania nga balina Covid-19, ekyongedde okutiisa abakulembeze nti bayinza okusasaanya obulwadde.
Embeera eyo, ewaliriza abakulembeze e Mukono nga bakulembeddwamu Minisita omubeezi ow’amazzi Ronald Kibuule okufuuyira akatale k’e Namawojjolo okutta obuwuka, obuyinza okutambuza obulwadde.
Mungeri y’emu abasuubuzi balagiddwa okusigala nga bakolera mu mpalo okwewala omujjuzo, oguyinza okutambuza obulwadde wadde akatale kalina abasuubuzi abasukka mu 700.
Wabula abamu ku basuubuzi bagamba nti okubalagira okudda mu mpalo mu kutambuza emirimu gyabwe, kigenda kubalemesa okunoga ensimbi mu kaseera akazibu nga banoonye mmere ya leero.