Omuwala munnakenya Tanasha Donna Oketch alaze nti alina obusungu olw’abantu okumwogerako mu lugambo nga beyambisa emikutu egy’enjawulo.

Tanasha yali muwala w’amaanyi oluvanyuma lw’okudda mu kifo kya Zari Hassan nga mukyala w’omuyimbi w’e Tanzania Diamond Platnumz kyokka mu kiseera kino embeera eyongedde okutabuka.

Mu kiseera kino Tanasha ali ku mudaala gw’abanoonya mu ggwanga erya Kenya oluvanyuma lwa Platnumz okumusuulawo nga yakamuzaalira omwana omu nga kivudde ku nsonga y’obwenzi.

Tanasha agamba nti bba Platnumz yali asukkiridde obwenzi nga tasobola kukiguminkiriza.

Mungeri y’okulaga nti obukyawe abufudde obusungu, Tanasha atabukidde abantu abamwogerako n’okumuwandiikako nga tebamunanyi ate nga abamwogerako bikyamu byokka.
Agamba nti abantu ng’abo tebamanyi kyebogerako era balinga abasiru, “It’s sad how some people only have negative things to say when they know absolutely NOTHING about you. Remember gossip is shared by the misinformed who often sound like fools, while creating ongoing drama & disorder“.

Mu kiseera kino Tanasha talina mulimu gumanyiddwa era kiteeberezebwa nti situleesi y’okulowooza ng’ali mu kaboozi ne Platnumz ate nga omusajja yagenda y’emu ku nsonga lwaki atandiise okulowooza nti bamwogerako ebikyamu.