Poliisi y’e Rukungiri ekutte abantu 2 okuva mu lukiiko lwa disitulikiti, abali ku ddimu ly’okulwanyisa Kolona lwa kutunda mmere eyabadde ebaweereddwa okuweebwa abantu.

Abakwattiddwa kuliko Robert Tukamuhebwa ssentebbe w’abuvubuka ku disitulikiti y’e Rukungiri ne Isaac Kaharuza eyali omuyambi wa Rtd. Major General Jim Muhwezi eyaliko omubaka we Rujumbura mu Palamenti.

Okusinzira kw’addumira Poliisi y’e Rukungiri Moses Nanoka, Poliisi ekutte abantu basatu (3) omuli n’omusuubuzi abadde agula akawunga.

DPC Nanoka agaanye okwatuukiriza amaanya g’omusuubuzi nga kiyinza okutataganya okunoonyereza kwabwe.

Ate Elias Byamungu akulira eby’emirimu ku disitulikiti y’e Rukungiri, agambye nti akawunga kkiro ezisukka 1300 zitundiddwa obukadde obukunukiriza mu 2.

Agamba nti bakoze enkyukakyuka mu kakiiko akalina okuwa abantu emmere, okugyamu abakyamu, abali mu kugitunda.