Sipiika wa Palamenti Rebecca Alitwala Kadaga akangudde ku ddoboozi ku ngeri Gavumenti gy’ekuttemu ensonga za Covii-19.

Kadaga agamba nti kyanaku bannayuganda okubasibira awaka ng’omuwendo gw’abantu abasinga obungi abalina Kolona ba Ddereeva abali ku ddimu ly’okutambuza ebyamaguzi, bali mu kweyagala nga bali ku mirimu gyabwe, bakyatambula.

Agamba nti eky’abantu okubasibira awaka, nga ba Ddereeva abalwadde batambula kyongedde okumalamu bannayuganda essuubi eryokusigala ku muggalo.

Kadaga okuvaayo, kidiridde Uganda okuweza omuwendo gw’abalwadde ba Kolona 160 oluvanyuma lw’okuzuula abalwadde abalala 21, mu kiro ekikeseza olwa leero nga bonna ba ddereeva abaayitiddemu ku nsalo y’e Mutukula, Busia ne Elegu.

Minisitule eraga nti abalwadde abazuuliddwa kuliko bannansi ba Kenya 8, Tanzania 7, Uganda 5 ne South Sudan 1.

Ate ku ‘sampo’ 303 okuva mu bantu babuligyo, temuli yazuuliddwa nga mulwadde.