Omukyala Zura Mukamana myaka 36 asindikiddwa ku limanda mu kkomera e Kigo ku misango gy’okusindika muwala we okwetunda ku basajja abakulu.
Mukamana yakwattiddwa Poliisi y’e Katwe ku bigambibwa nti muwala we abadde amutunda mu basajja 2 ssente ezitamanyiddwa n’okumuwa emmere.
Okukwattibwa, kyaddiridde vidiyo okuyitingana ku mutimbagano gwa Face Book ng’omuwala myaka 14 agamba nti nnyina Mukamana abadde amukaka okwebaka n’abasajja abakulu nga mu kiseera kino ali lubuto kyokka tamannyi nannyini lubuto.
Oluvanyuma Poliisi yakwata abantu 3 omuli maama Mukamana n’abasajja Fred Bulega, 41 ne John Mwesigye, 18.
Enkya ya leero, Mukamana ne Bulega basimbiddwa mu kkooti y’e Makindye mu maaso g’omulamuzi Lorna Patience Tukundane era baguddwako omusango gw’okukusa abaana n’okumusobyako.
Kkooti ekitegeddeko nti mu December wa 2019, mu zzooni ya Masajja Kibira B, Makindye Ssabagabo, Mukamana yatwala muwala we mu maka ga Bulega okwebaka naye olwa ssente.
Mu kkooti, bonna baganiddwa okubaako ne kyeboogera kuba bali ku misango gya naggomola egiwulirwa Kkooti Enkulu yokka.
Mukamana asindikiddwa ku limanda mu kkomera e Kigo ate Bulega ali ku misango gy’okusobya ku mwana omuto n’okumufunyisa olubuto ku myaka 14 asindikiddwa mu kkomera lye Kitalya okutuusa nga 5, June, 2020.
Omwana yatwaliddwa mu maka agalabirira abaana okubudabudibwa.