Abantu 18, bazuulidde nga balina Covid-19 kw’abo 1,086 abaakebeddwa olunnaku olw’eggulo.
Ku balwadde 18, 6 baddereeva abali ku ddimu ly’okutambuza ebyamaguzi ate 12 bantu babuligyo nga kiteeberezebwa, obulwadde babugya ku baddereeva.
Ku baddereeva 6 abalwadde, 4 baavudde mu South Sudan ku nsalo ye Elegu ate 2 ku nsalo ye Mabala.
Ate ku bantu 12 abazuuliddwa nti balwadde, 8 batuuze b’e Amuru, 3 Buikwe ate 1 kuva Kyotera.
Mungeri y’emu, Minisitule y’ebyobulamu egamba nti baddereeva bannansi ba Kenya 13, Tanzania 3, Eritrea 3 ne Congo 1 nga bakola omugatte gw’abantu 21 abazuuliddwa nga balwadde, baziddwayo mu nsi zaabwe.
Uganda mu kiseera kino erina abalwadde 507 ng’esiibudde abantu 82 abajanjabiddwa.