Katikkiro wa Buganda munnamateeka Charles Peter Mayiga, alabudde abaana b’omugenzi Omuyimbi Prince Paulo Kafeero, okwesonyiwa enjawukana ku bintu by’omugenzi wabula buli omu akole ebibye.

Katikkiro agamba nti kiswaza abaana abasukka emyaka 25 okulowooleza okuziikula omugenzi Kafeero olw’enjawukana ku by’obugagga.

Kafeero eyafa nga 17, Ogwokutaano, 2007, abaana, bagamba nti balina okumuziikula okumugyako ndaga butonde kuba y’engeri yokka ey’okuzuula bamulekwa abatuufu, abagwanidde ogabana ebintu by’omugenzi.

Kati no, Katikkiro Mayiga awadde abaana b’omugenzi amagezi okwesonyiwa emmaali y’omugenzi bakole ebyabwe ssaako ne famire y’omugenzi okweyambisa abaana abagambibwa nti Kafeero, okubagyako ndaga butonde okuzuula ekituufu okusinga okulowooza okuziikula Kafeero.

Mungeri y’emu Mukuumaddamula Mayiga alambuludde mu Buganda kwe basinzira okuziikula omuntu yenna.

Mayiga agamba nti okuziika omuntu mu kifo ekikyamu, y’ensonga yokka eyinza okusindikiriza aba famire okuziikula omuntu era Kafeero, balina okumwesonyiwa.

Okubyogera asinzidde mu lukiiko lwa Buganda olwokuna (4) olutuula olwa 27 oluyisiza bajjeti ya Buganda eya 2020 – 2021. Bajjeti esomeddwa Minisita w’Ebyensimbi era amyuka wa Katikkiro ow’Okubiri Owek. Robert Waggwa Nsibirwa nga ya buwumbi 109.

Eddoboozi lya Mayiga