Kyaddaki muwala wa Frank Gashumba, Sheilah Gashumba avuddemu omwasi ku bigambibwa nti 2021 agenda kwesimbawo ku ky’omubaka omukyala owa Kampala okudda mu bigere bya Nabilah Naggayi Sempala.
Sheilah mukyala wa Ali Marcus Lwanga amanyikiddwa nga God’s Plan ennaku zino ali nnyo mu mawulire ku nsonga ez’enjawulo omuli okuvaayo ku nsonga ya bannamawulire ku Ttiivi mu Uganda okufuna ssente emitwalo 5 buli lunnaku (50,000), akakadde kamu (1,000,000) buli mwezi, okulwanyisa eky’abantu okwevuma n’okusasaanya obulimba ku mitimbagano n’ensonga endala.
Aba Scoop baafulumizza amawulire okulaga nti sheilah agenda kwesimbawo wabula asobodde okweyambisa omukutu ogwa Twitter okutegeeza nti ye tali mu byabufuzi, “I’m not into politics“.
Mu kiseera kino Dr. Stella Nyanzi eyali omusomesa ku yunivasite e Makerere yekka yeyakalangirira okuvuganya Nabilah mu kulonda kwa 2021 ku kaadi ya FDC.